Ruth 4

Bowaazi ne Luusi Bafumbiriganwa

1 aAwo Bowaazi n’ayambuka ku wankaaki w’ekibuga n’atuula awo. Mu kiseera kye kimu, muganda we oli gwe yayogerako ngali ne Luusi, yali ayitawo. Bowaazi n’amuyita namugamba nti, “Jjangu otuuleko wano munnange.” Naye n’akkiriza, n’agenda n’atuula we yali. 2 bBowaazi n’ayita n’abasajja kkumi ku bakadde b’ekibuga ne bajja ne batuula awo. 3N’alyoka agamba muganda we nti, “Nawomi, eyakomyewo okuva mu Mowaabu, atunda ekibanja ekyali ekya muganda waffe omugenzi Erimereki. 4 cNdowoozezza nti nkutegeeze ku nsonga eyo, ekibanja ekyo okigulire mu maaso g’abakadde baffe. Bw’oba ng’oyagala okukinunula kinunule. Naye bw’oba nga toyagala, ntegeeza nkimanye. Tewali mulala alina buyinza kukinunula wabula ggwe, ate nga nze nkuddirira mu lunyiriri lwaffe.”

Omusajja n’addamu nti, “Nzija kukinunula.”

5 dAwo Bowaazi n’amugamba nti, “Olunaku lw’oligula ekibanja ekyo ku Nawomi, ne Luusi Omumowaabu, nnamwandu naye olimutwala, erinnya lye yafa n’olikuuma n’ebintu bye n’obirabirira.”

6 eAmangwago, omusajja n’addamu nti, “Nze sisobola kukinunula kubanga nnyinza okwonoona obusika bwange. Noolwekyo gwe kinunule.”

7 f(Edda mu Isirayiri, empisa ey’okununula n’okuwaanyisa, yali nga bw’eti: omuntu omu yaggyangamu engatto
Mu bitundu ebyo eby’ensi, okuba n’engatto kaali kabonero akalaga ng’omuntu bw’ali omugagga (Zab 60:8).
ye, n’agiwa munne. Eno ye yali ng’enkola entuufu mu Isirayiri).

8Awo omusajja n’agamba nti, “Kyegulire.” Amangwago Bowaazi n’aggyamu engatto ye. 9Bowaazi n’alangirira eri abakadde n’abantu bonna nti, “Olwa leero, nguze ku Nawomi ebintu byonna ebya Erimereki, n’ebya Kiriyoni n’ebya Maloni, era mmwe muli bajulirwa. 10 hEra ne Luusi Omumowaabu, nnamwandu wa Maloni, naye mututte okuba mukazi wange, okusobola okukuuma erinnya ly’omugenzi Erimereki n’ebintu bye, erinnya lye lireme okufiira awo ate n’okugibwa ne ligibwa mu bitabo bye byafaayo eby’ekibuga. Mmwe bajulirwa!”

11 iAwo abakadde n’abantu bonna abaali ku wankaaki ne boogera nti, “Tuli bajulirwa. Mukama Katonda amufaananye nga Laakeeri ne Leeya
Ng’Abayisirayiri bonna bwe baali bazzukulu ba Laakeeri ne Leeya, bwe kityo ne Luusi yali jjajja wa Dawudi ne Kristo.
, abaazimbira awamu ennyumba ya Isirayiri. Naawe Bowaazi oyale mu Efulasi, era oyatiikirire mu Besirekemu,
12 kera n’ezzadde Mukama Katonda ly’anaakuwa mu mukazi oyo, libeere ng’ennyumba ya Pereezi
Pereezi yali jjajja wa Bowaazi (Mat 1:3; Luk 3:33)
, Tamali gwe yazaalira Yuda.”

13 mAwo Bowaazi n’awasa Luusi okuba mukazi we, n’ayingira gy’ali, n’aba olubuto, Mukama Katonda n’amusobozesa okuzaala omwana owoobulenzi. 14 nAbakyala ne bagamba Nawomi nti, “Mukama Katonda yeebazibwe, oyo atakulese nga tolina mununuzi olunaku lwa leero. Era erinnya ly’omwana lyatiikirire mu Isirayiri yonna! 15 oKubanga muka mwana wo akwagala, alizza obuggya obulamu bwo n’akuwanirira mu bukadde bwo; era akusingira abaana omusanvu, be yandizadde.”

16Awo Nawomi n’atwala omwana, n’amuwambaatira mu kifuba kye, n’amulabirira. 17 pAbakyala ab’oku muliraano ne bagamba nti, “Ewa Nawomi ezaaliddwayo omwana.” Ne bamutuuma erinnya Obedi, oyo ye kitaawe wa Yese, era jjajja wa Dawudi.

18 qLuno lwe lunyiriri lwa Pereezi:

Pereezi yali kitaawe wa Kezulooni,
19 rKezulooni yali kitaawe wa Laamu,
Laamu n’aba kitaawe wa Amminadaabu.
20Amminadaabu yali kitaawe wa Nakusoni,
Nakusoni nga ye kitaawe wa Salumooni;
21 sSalumooni yali kitaawe wa Bowaazi,
Bowaazi n’aba kitaawe wa Obedi;
22Obedi yali kitaawe wa Yese,
Yese n’aba kitaawe wa Dawudi.
Copyright information for LugEEEE